
Ebyentambula ku luguudo lw’e Kigumba-Masindi bisanyaladde oluvanyuma lw’emigga okubimba amazzi neganjala mu nguudo za tawuni.
Okusinziira ku bavuzi bemmotoka ebifo ebisinze okukosebwa kuliko ekyalo Nyambindo nga eno omugga Waiga gwegubimbye n’ebyalo ebirala okuli Kigumba.Ssentebe wa disitulikiti ye Kiryadongo Ben Constantine Moru ategezezza nga gavumenti bwezze esubiza okuddabiriza oluguudo oluva e Kigumba-Kyenjojo naddala mu biseera by’akalulu naye nga mpawo kikoleddwa.
Ategezezza nti mu 2010 waliwo ebimotoka ebirima enguudo ebyaletebwa wabula byabulawo mpolampola.