Waliwo omulamazi afudde
Beatrice Birungi ow’emyaka 45 yoomu kw’abo 20 abazirise olw’ekiziyiro ku biggwa by’abajulizi e Namugongo
Birungi yatambudde okuva e Mukono olunaku lwajjo era olwaleero neyetaba mu kusaba.
Ab’enganda ze bagamba nti emisa ebadde egenda mu maaso, omukyala ono n’ategeeza nga bw’abadde awulira kamunguluze era ekizzeeko kuzirika nebamuddusa mu ddwaliro e Mulago
Bbo abe Mulago bataddewo akasenge ek’enjawulo nga katuukiramu bakoseddwa e Namugongo era ng’abasawo bali bulindaala
Bbo ab’ekibiina kya Redcross bagamba nti bakajjanjaba abantu abawera 3060
Jorama Musinguzi okuva muredcross agama nti ebbugumu erisusse lyeriviiriddeko abantu okuziyira are nga n’abamu tebalina mazzi ga kunywa
Agambye nti okuva bbalaza, bakakola ku bantu 12000
Bbo bannayuganda basabiddwa obutatunda kalulu kaabwe mu mwaka 2016
Ssabalabirizi wa kkanisa ya Uganda rev Stanley Ntagali y’akoze okusaba kuno
Ng’ayogerako eri abakkiriza, Ntagali agambye nti bannayuganda basaanye okwetaba butereevu mu nsonga z’okulonda kyokka nga tebabaguze
Ntagali agamba nti okutunda akalulu kuba kwetunda mutima