Omuliro gukutte ekizimbe kya Eugene House wano mu Kampala.
Kigambibwa nti omuliro gutandikidde ku mwaliriro ogwokubiri olwo negusaasaana .
Omu ku bakuliddemu abalwanyisa omuliro guno Okobo Godfrey ategezezza nga bwewatali muntu yenna akyakwamidde mu kizimbe kino.
Agamu ku maduuka agakoseddwa kuliko erya Bata nga lino litunda ngatto nga era twogeddeko n’abamu ku basuubuzi.