Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Sembabule etandise okunonyereza kungeri, omuliro gyekutte ekisulo kyabayizi, negusanyawo ebintu ebiwerako.
Omuliro guno gubadde ku ssomero lya St Anthony Sembabule RC P/S.
Okusinziira ku mukulu we ssomero lino Allen Musoke, omuliro gutandise abayizi bwebabadde mu bibiina, mu kusoma okwokumakya.
Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lye Masaka Lameck Kigozi, tebanakakasa kivuddeko muliro guno, nayenga okunonyereza kutandise.