Bya Malik Fahad,
Poliisi e Lyantonde erimukunonyereza ku kyavirideko omusajja okusalako mukyalawe omutwe
Entiisa eno ebadde ku kyalo Kyewanula mu Lyantonde rural mu disitulikiti yé Lyantonde. Ono oluvanyuma lwokutta mukyalawe kigambibwa nti yaggalidde omulambo gwe munyumba okumala ennaku 2
Omugenzi ategerekese nga Nuliat Namata ate bba amugye mu budde ye Jamadah Ssengoba.
Okusinzira ku baliranwa basanze omulambo gwa Namata nga gugaliddwa mu nyumba mu kitaba kyomusaayi
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya maserengeta Muhamad Nsubuga akakasiza ettemu lino nategeza nti omulambo gugidwawo ne gutwalibwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa nga nomuyigo ku mutemu gutandise.