Bya Magembe Sabiiti
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Busula-Kikandwa mu gombolola ye Kalwana e Mubende omusajja bwawadde mukazi we obutwa namutta.
Omugenzi ye Nyinagirimaana Edisa ng’ono asangiddwa nga afiridde mu nyumba ye.
Omwogezi wa police mu Wamala Region Nobert Ochom ategezezza ngokunonyereza kwa police bwekulaga nga bba w’omukyala ono Ssegujja bweyawadde mukyala we obutwa nga kati police etandiise okunonyereza ku ttemu lino.