Bya Magembe Sabiiti
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kyangota mu gombolola ye Katikala mu district ye Kakumiro, omusajja bwatemyeko mukazi we omutwe n’oluvanyuma namusalamu omutima nagulya.
Ssentebe we gombolola ye Katikala Kabagambe Everist atubulidde nga bwebabadde bamaze enaku 2 nga banoonya Oliva Ndagizimaana nga talabikako okutuusa lwebakute bbawe ategerekeseko erya Ambrozi abategezezza nga bweyatta mukazi we namuziika mu kinya nga amutebereza okuganza abasajja abalala.
Poliisi esobodde okuzikulayo omulambo, nga gusangiddwa nga gutemedwako omutwe era nga n’omutima nga gwajibwamu nebyenda.
Bino bisangiddwa mu sefuliya nga wano bbawe ategezezza nga omutima bweyagulidde.
Omuddumizi wa poliisi e Kakumiro Najibu Waiswa akakasizza okukwatibwa kwa Ambrozi ngaguddwako omusango gw’okutta omuntu era akadde konna wakutwalibwa mu kooti avunanibwe.