poliisi ye Namutumba eriko omukazi ow’emyaka 34 gwekutte lwakubba embuzi 6.
Omukwate ategerekese nga Esther Namulondo omutuuze mu tawuni kanso ye Namutumba nga era embuzi za Christopher Nabongo ow’okukyalo kyekimu.
Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Namutumba Michael Esau Odoi agamba embuzi zino zisangiddwa mu maka g’omukwate nga yasazeeko dda emu.
Kati ono wakuggulwako gwakubba mbuzi.