Bya Abubaker Kirunda,
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Muguluka West mu gombolola ye Buwenge omusajja owemyaka 27, bwasangiddwa nga mufu, alengejja.
Ono okwetta kigambibwa, abadde munyiivu eri nnyina olwoku olwokulemererwa okumanya kitaawe.
Omugenzi ye Simon Tezikya, ngabadde mutuuze ku kyalo kino, ngokusinziira ku ssentebbe wekyalo Richard Kakungulu omugenzi amaze ebbanga ngabanja maama we amubuliire taatawe.
Ono asabye abazadde naddala ba maama, bulijjo obutakumira baana mu butamanya.