Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi wa kooti ento e Lugazi Aisha Nabukeera olwaleero assubirwa okulamula ku musango gwokukuma omuiro mu bantu, ku eyali omubaka wa Buikwe South Dr Lulume Bayiga.
Dr Lulume yakwatibwa mu December womwaka oguwedde , navunanibwa okukuma omuliro mu bantu nokukuba abasirikale ba poliisi.
Ono bamukwatira Ngogwe mu lusisira lwebyobulamu olwali lutegekeddwa, aba Rotary Club eye Mukono.
Oluvanyuma lwokumuggalira ku poliisi e Luzira yaletebwa mu kooti ngolwaleero omusango gugenda kusalwa akakwungeezi ka leero.