Bya Samuel Ssebuliba.
Ebitingole ebikuuma dembe bisabiddwa okunonyereza ku butale obutandise okumerukawo mu gwanga nga butunda abaana nga abaddu naddala mu district ye Soroti.
Twogedeko n’akulira ekibiina ekya Dwelling places Uganda Damon Wamara, naagamba nti mukukubaganya ebirowoozo nabakulembeza ba district ez’enjawulo kwebaalimu baakizuula nga akatale ka Arapai ak’omubuulo kalimu abantu abalenga abaana nga emyeera nga babalimbye nti babatwala kampala kukola, oba okubasomesa, kyoka nga babatwala kubatunda.
Ono agambye nti abakukusa abaana babagula emitwalo 20,000 gyokka ,era bangi basibidde wano mu Kampala ku nguudo- basabiriza.