Ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti ekyali matankane ku by’okukwata eyali ssabaminista Amama Mbabazi.
Kiddiridde bannamateeka ba Mbabazi okutegeeza nga bwebafunye amawulire nti omuntu waabwe wakukwatibwa assibweeko emisango gyebayise emijingirire.
Munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema agambye nti Mbabazi wakussibwaako misango gyakukettera amawanga amalala, obutemu n’obufere.
Kati Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita agambye nti tasobola kukkiriza oba yye oba nedda emisango wegiri n’asaba bannamateeka ba Mbabazi okukakasa oba emisango tegiriiwo oba nedda.
Chibita era ategeezezza nga tebannafuna bbaluwa erimu kwemulugunya kwa Mbabazi kyokka nga bwebanagifuna bakwanukula.
Mu ngeri yeemu Poliisi yesambye ebigambibwa nti erina enteekateeka ezikwata Mbabazi.
Amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye agambye nti nabo amawulire bagajje ku bannamateeka ba Mbabazi.