Skip to content Skip to footer

Mbabazi wakukwatibwa- bannamateeka be

File Photo: Mbabazi nga kutte foomu emukiliza okwesimba wo ku bwa pulezidenti
File Photo: Mbabazi nga kutte foomu emukiliza okwesimba wo ku bwa pulezidenti

Bannamateeka ba Amama Mbabazi bawandiikidde sabawaabi wa gavumenti nga bamubuuza ku bigambibwa nti omuntu waabwe wakukwatibwa.

Kigambibwa nti Mbabazi wakuvunanibwa emisango okuli obutemu, obufere n’okuketta gavumenti yakuno.

Bannamateeka ba Mbabazi  bategezezza nga omutu wabwe bw’asubirwa okukwatibwa olunaku lw’enkya oba olwaleero

Nga bakulembeddwamu  Fred Muwema bategezezza nga bbo bwebatagendera ku ngambo kale nga baagala ssabawabi abatangaze ku misango egy’okugulibwa ku Muntu waabwe.

 

Waliwo ekibinja ky’ababodaboda abasoba mu 200 abakedde okukunganira ku ofiisi z’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi eza Go-Fpward  e Nakasero nga ateekateeka okusunsulibwa olunaku olw’enkya.

Bano babadde bambadde obujaketi bu kamyanso okuli ebifananyi bya Mbabazi nga era batisse ebipande bye.

Bano bebamu ku bagenda okuwerekera Mbaabzi ku kisaawe e Nakivubo nga amaze okusunsulibwa.

Leave a comment

0.0/5