
Pulezidenti Museveni agamba nti ekisinze okukosa empereeza eri abantu beebakulembeze abatalina mutima gwa bantu.
Ng’ayogerako eri bannakibiina mu kuggalawo ttabamiruka, pulezidenti agambye nti obukulembeze bulina kutambulira ku mpereeza era oyo yenna alina ky’ayagala alina kukulembeza bantu
Museveni agambye nti ekyennaku kiri nti abantu ebyobufuzi babiraba nga mulimu ekirese ng’emirimu gikoseddwa.
Olukungaana ono era lwetabiddwaako eyali meeya wa kampala Alhajji Nasser Ntege ssebaggala
Yye pulezidenti akozesezza olukiiko okulangirira ng’eyali omumyuka we Gilbert Bukenya bweyada ewaka era n’amusaba okubuuza ku bantu.
Ono awaanye Museveni okubeera n’omulamwa n’asaba bannayuganda okuddamu okumulonda.
@@@@@@@@@@@
poliisi etegeezezza nti efunye amawulire nti waliwo abavubuka abategese okugaba ebipande ebikuma mu bantu omuliro mu kaseera nga pulezidenti Museveni awandiisibwa olunaku lw’enkya.
Okusinziira ku poliisi, ebipande bino biriko ekifananyi kya pulezidenti Museveni era nga birabula nti tewajja kubaawo kulonda.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti abavubuka bano bakubunya ebipande mu kibuga kyonna n’ekigendererwa ky’okwawula mu bannayuganda.
Alabudde abategeka okukola bino nti baakukwatibwa