Ebadde ntiisa omusajja bw’atomedde nyina n’amuttira ewaka
Ekikangabwa kino kibadde ku kyaalo Kakutu mu disitulikiti ye Kibuku
Ayogerera poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo ategeezezza nga Adam Mulabbi bw’akoonye nyina w’emyaka 70 ategerekese nga Hajati Aziza Nisemba.
Omusajja ono kigambibwa okuba nti abadde atuuse ewaka n’asimba emmotoka era n’avaayo okujja ebintu mu buutu kyokka nga tataddeemu buleeki emotoka n’esigala n’entambula n’erinnya nyina
Omukyala ono abadde amenyese embiriizi bagezaako okumutwala mu ddwaliro kyokka nga tasobodde kulutonda
Omusajja ono adduse nga kati poliisi emuyigga