EBYOBULAMU
Bya Samim Nateebwa

Ministry yebyobulamu ekakasizza okubalukawo kwomusujja gwa Crimean-Congo hemorrhagic fever mu gwanga.
Omusujja guno ministry erabudde nti gabulabe nnyo, ngokusinga guva ku bisolo naddala ebirundirwa awaka.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu Ministry, akulira ebyobujanjabi ebyabulijjo Dr. Anthony Mbonye agambye nti omusujja guno gwazuliddwa okuva mu kwekebejja kwebakoze mu malwaliro age Kiboga ne Nakaseke.
Kati alabudde abebyobulamu mu distrct zino nendala eziwera 16 okuli Moroto, Katakwi, Mubende, Kayunga, Luweero, Lyantonde, Mbarara nendala okubeera abegndererza.
Kati omusujja guno gukwata okuva ku Muntu okudda ku Muntu omulalala, okuyita mu byokulya, okukwata ku nkwa, nokukwata ku bisolo ebibulina.