Skip to content Skip to footer

Omusuubuzi David Katumwa akwatiddwa lwakulinnya mu muddo

Katumwa

Munnabyabusuubuzi omugundiivu, David Katumwa akwatiddwa ng’atambulira mu muddo gwa KCCA.

Ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya cityhall, Sarah Langa era teyegaanye misango gino.

Omulamuzi amusalidde ekibonerezo kyakusasula emitwalo 2 egyabuliwo oba okusibwa sabbiiti 2 yadde nga ab’oludda oluwaabi basabye nti aweebwa ekibonerezo ekikakali

Kigambibwa nti nga 29 omwezi guno, Katumwa bweyali ku luguudo lwa Nile Avenue mu kampala, yatambulira mu muddo ate nga waaliwo amakubo  agassibwaawo okuyitamu abantu, ekintu ekimenya amateeka.

Leave a comment

0.0/5