Skip to content Skip to footer

Omutanda e Kyaggwe kugye’Bika

Bya Ivan Ssenabulya

Embeera ya Bbugumu mu ssaza lya Ssabasajja erye Kyaggwe, nga’baayo balindirira Omutanda, agenda okulabikako olwaleero luno mu kuggulawo empaka zebika bya Buganda, ku ggombolola ye Nakisunga.

Engeeye egenda kwambalagana ne’Embogo.

Embuutu zivuga, nagabantu bajudde ku makubo, wakati mu kulindirira.

Ebiyitirirwa bizimbiddwa okuva mu Namanve, e Seeta, e Wantino nokutuuka ku Mbuga ye ggombolola e Nakisunga.

Leave a comment

0.0/5