Skip to content Skip to footer

Omuvubuka asobezza ku wa nasale

Omulamuzi wa kkooti e Gulu Deogratious Ssejjemba aliko omuvubuka g ow’emyaka 27 gw’aguddeko omusango gw’okukukusa n’okusobya ku kawala ka nasale.

File Photo: Police nga ekola ogwayo
File Photo: Police nga ekola ogwayo

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu William Bayo lutegezezza nga , Job Okema nga  October 1, omwaka oguwedde wali ku kyalo Laroo yawamba omwana ono n’asaba bazadde be emitwalo 25 nga tanamuta nga era singa tebazimuwa yali wakumutta.

 

Evubuka lino telyakoma ku kutiisatiisa wabula nelikkakana ku kawala kano nelikamalirako ejjakirizi era abasawo baagenze okukakebera kakazi kattu nga bakagagambula obumuli.

 

Kati omusangi guno gusindikiddwa mu kkooti enkulu  Okema ono avunanibwe ogw’okufutubbala ku mwana wamunne atanetuuka .

Leave a comment

0.0/5