Skip to content Skip to footer

Abafere balumbye Bukomansimbi

bukomansimbi
File Photo: Akabuga ke Bukoma nsimbi

Poliisi ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’abafere abagenda basasanya ssente z’ebichupuli mu disitulikiti.

Okusinziira ku batuuze, abafere bano batambulira ku pikipiki kyalo ku kyalo nga bwebatimba abaayo bbule nebababba.

Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko  Kitanda, Butenga n’obutawuni obulala.

Omu ku gwebafeze Muhammad Kabogere agamba bano basing kugaba bichupuli bya mitwalo 5.

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Ibin Ssenkumbi agamba abantu bangi bazze bemulugunya ku babbi bano naye nga batandise okubagwa mu buufu.

Leave a comment

0.0/5