
Abayizi ku yunivasite ye Makerere batisizatisiza okwekalakaasa olunaku olwenkya, singa abakozi abatali basomesa tebakomye kediimo kaabwe.
Abakozi bano bayingidde olunaku olwokuna nga batadde wansi ebikola nga ensonga z’a misaala
Akola nga omukulembeze wabayizi be makerere Jotham Burupoto agamba nti ebibiina , kko namaterekero g’ebitabo gonna maggale,kyokka nga abaana bakutandika ebibuuzo nga 9 omwezi guno
Ono agamba nti babade bakakamu okumala akabanga, wabula nga kuluno kirabika obugumikiriza bulina okugwaawo
Wabula akawunegzi akayise akulira abakozi bano Jackson Betihama yabade ategeezeza nga bwebasazizaamu akediimo, wabula nga bbo abe makerere bakyagaanye okupondooka