Bya Magembe Ssabiiti.
Mubende :Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Lugala mu gombolola y’eKitenga mu Mubende disitulikiti ,omuvubuka bw’akubye munne akakumbi ku mutwe n’amutta nga ensonga ya nsimbi.
Omugenzi ategerekeseeko lya Yowana nga bano babadde baakajja ku kyalo kino okupakasa kyoka bwebakayanidde emitwalo ekumi nogumu zebaafunye, ono kwekukuba munne n’amutta
Omuddumizi wa police eMubende Byaruhanga Patrick ategezeezza nga police bwetandise okuyigga omuvubuuka ono.