Kikakasidwa nga omuwaabi wa government Joan kagezi bwatemuda ekiro kya leero ku saawa nga Bbiri bwabade ada mumakaage agasangibwa mubitundu bye Najeera.
Ono abamukubye amasasi bade abatambulira ku bodaboda, nga bano bamusanze kubufunvu [humps] bwe kiwaatule nebamukuba amasasi agamutidewo.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasiza okutibwa kwa kagezi, natubuulira police etandise okunoonyereza kubatemu bano.
Yye amyuka ayogerera ekitongle ekiramuzi Alaali Muhiirwa tutegeezeza nti ono yaabade akiikiride government mumusango oguvunibwa abatujju abaatega bomu mu mwaka 2010 abantu abasoba mu 70 bamale bafe , era nga guno omusango gubade gudamu okuwulirwa lunaku lwankya.