Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bunabala mu district ye Luuka omuwala owemyaka 11, bwawanuse ku muti gwomuyembe nagwa nafirawo.
Omugenzi ye Rachael Babirye muwala wa Fred Kauka, nga mutuuze ku kyalo kino era mu gombolola ye Bulongo.
Kitaawe ategezezza nga bweyalinnye omuyembe ne banne 3, wabula bbo abasimattuse okufa oluvanyuma lwenkuba okufukumuka, neyuya omuti kwebabadde.
Kauka agambye ti kirabika era kivudde ku muti guno okubeera nga guserera.