Skip to content Skip to footer

Akediimo kabasomesa katandise

Bya Damalie Mukhaye ne Ivan Ssenabulya

Akadiimo kabasomesa mu masomero namatendekero agebyemikono aga gavumenti kagenda kutandika olwaleero, nga babanja gavumenti ebongeze omusaala.

Bano baali balaliika gavumenti mu nnaku 14, nti ekole ku nsonga zaabwe era nebalabula okuteela wansi ebikola.

Kati bwabadde ayogerako naffe ssabawandiisi wekibiina ekigatta abasomesa, ekya Uganda National Teacher’s Union Filbert Baguma akaksizza nti akadiimo kaabwe katandise, nayenga akinenyezza ku kubalaata kwa gavumenti obutabanukula.

Wabula gyebuvuddeko omuwandiisi omukulu mu ministry yebyenjigiriza n’emizannyo, yabadde asabye abasomesa okubeera abakakamu balindeko embalirira ye gwanga esomebwe.

Ate mungeri yeemu abasomesa basabiddwa okukozesa obudde obutuufu okunyigiriza gavumenti ku byebabanja mu budde obutuufu, obutakosa syllabus.

Akulira ekitongole ekyebuzibwako ku byenjigiriza, ekya Basajjassubi Education Consult, Daniel Ndawula agambye nti waddenga gavumenti enyezebwa obutatukiriza bisubizo byayo eri abasomesa, naye nabasomesa batekeddwa, okuloowooza ku mulimu gwabwe okusomesa abaana.

Agambye nti okwediima nga kuno kwekusinga okuvirako abayizi okukola obubi mu bigezo.

 

Leave a comment

0.0/5