Bya Magembe Ssabiiti Entiisa ebutikidde abatuuze e Mubende abafumbo bwe bafunye obutakanya okukakana ng’omusajja atuzze mukaziwe n’omulambo n’aguyiwako acid.
Ono olumaze okola ettemu lino aliko ebbaluwa gy’awandiise n’agitwala ku buko e Nabingoola n’abategeeza nga muwala waabwe bwaliko olumbe olumusse bagende banone omulambo gwe.
Ettemu lino libadde ku kyalo Kabasojjo e Mubende ng’omugenzi ategerekese nga Kemigisha Beatrice ng’ono attiddwa bba amanyiddwa nga Mutoolo