Abantu abasoba mu 71 beebali mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okugwa ku bubenje ku lunaku lwa Easter jjo
Bano bali awatuukira abayi era ng’abasinga obubenje baafunye bwa bodaboda
Atwala waadi eno Marie Achakala agambye nti 21 ku bano balumbiddwa ate ng’abalala obubenje baabufunye batamidde nga nakati bakyafubutuka omusaayi
Abasinga ku bantu bano tebaliiko baabwe ate nga tebasobola kwogera kale nga tebalina ngeri gyebayambibwaamu.
Bbo abaana 73 beebazaaliddwa mu ddwaliro e Mulago olunaku lwajjo
Atwala leeba ye Mulago Sulphine Twinomuhangi agamba nti ku bano 55 bazaaliddwa bulungi ate 18 bamaama baabwe basaliddwa
Kuno era kuliko emigogo gy’abalongo 3.
Ate e Mbarara , abaana 28 beebazaaliddwa ku lunaku lwa paasika.
Akulira waadi y’abaana mu dwaliro lye Mbarara Judith Kyarisiima agambye nti abaana 15 baabadde bawala 11 balenzi , era nga bamaama b’abaana bonna bali bulungi, nga kwogase ne 13 abaalongoosegwa obulongoosebwa.