Omuyimbi Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47 afudde.
Ono ye muto w’omuyimbi Jose Chameleone, nga yafudde yakatuusibwa mu ddwaliro lye Nsambya oluvanyuma lw’okugwa mu kinaabiro mu bbaala ya Dejavu e Kabalagala gy’abadde ne banne.
Akulira ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba Andrew Benon Kibuuka aagambye nti okufa kwa AK mawulire ga nnaku era ag’ekibwatuukira n’ategeeza nga bwebagenda okukwatagana ne famire ye okulaba eby’okuziika
Omulambo poliisi yaguggye mu ddwaliro e Nsambya n’egutwala e Mulago okusobola okwongera okugwekebejja abasawo bategeeze ekituufu ekyamusse.
AK47 (25) muto w’omuyimbi Jose Chameleon abadde ayimbira mu Team NO Sleep eya mugandawe Pallaso.
Alese abalongo ba myezi 3.