Skip to content Skip to footer

Omuyimbi Jose Chameleon ayingidde mu DP

Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao awadde abavubuuka amagezi obutetulako n’ebitone by’obukulembezzeolw’ensonga ky’ekiseera okuvaayo okulwanirira egwanga lino.

Bino abyogedde ku mukolo omuyimbi jose chameleon waweereddwa kaada ye kibiina kya Democratic Party emukakasiza nga munnakibiina omujjuvu.

Mu balala abasaze eddiiro kubadeko eyaliko omubaka we mukono south mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, rev peter Bakaluba Mukasa, omuyimbi pius Mayanja aka pallaso n’abalala.

Mao alonze chameleon ku kifo kya ssabakuunzi w’ekibiina mu ggwanga lyonna.

Mao ategezezza nga kye kino ekiseera abavubulka okulembera egwanga lino wakati mu kuwabulwa kwa banabyabufuzi abaludeewo.

Wano chameleon asuubiza okunganya abavubuka okwegata ku kibiina.

Ate ye maamawe Proscovia Namirimu Mayanja asambaze ebyogerebwa ku mutabaniwe nti yasindikidwa NRM okubega aba DP bwategezeza nti bajjajja ba chameleon bonna baali bannaDP kakongoliro.

Mungeri yemu Abo mukaago gwa Democratic Party bloc  bategezezza nga bwebali abategefu okutuula n’ebibiina ebilala ebiwabula gavuewmnti okuvaayo n’endowooza eyawamu okulaba nga bawangula omukulembeze aliko mukalulu kabona ak’omwaka 2021 okulaba nga bawangula omukulembezze aliko.

Leave a comment

0.0/5