
Poliisi ye Kabale ekutte omuvubuka ow’emyaka 20 lwakutta jajjawe ow’emyaka 78.
Omukwate ono ategerekese nga Peter Rukundo omuyizi ku ssomero lya Kigata high school.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye kigezi Elly matte, omukwate ono kigambibwa okuba nti yasse Daniel Munanura owokukyalo Rushambya mu gombolola ye Kanjobe .
Omuzzukulu ono yafuna obutakkanya ne jajjawe n’amukuba ennume y’ekiwo oluvanyuma n’amugunda enfunda eziwerako ku mutwe n’amutta.