Bya Julius Ocungi
Waliwo omukazi agambibwa okubeera n’ekirwadde kya Ebola ayawuddwa ku balwadde abalala mu ddwaliro lya St Mary’s Hospital Lacor mu disitulikiti ye Gulu.
Omu kubasawo abakugu mu ddwaliro lino Dr Emmanuel Ochola agamba ono baamukwatidde mu ddwaliro lino nga y’avudde Adjumani kubanga y’atuusa yenna avaamu omusaayi mu buli katuli kamubiri abasawo kwekumwawula ku balala.
Dr Ochola omusaayi gw’ono gwatwaliddwa okukeberebwa aba Uganda Virus Research Institute okumanya ddala oba ono alina Ebola oba nedda era bakyanonyerza oba yalinye taxi okujja mu ddwaliro kubanga singa kisangibwa nti mulwadde olwo ayinza okuba nga yaiize n’abaabadde mu taxi.
Mu October wa 2000 abantu abali eyo mu 400 baalumbibwa ekirwadde kya Ebola nga era 200 bafiira mu wiiki ntono.
Omwezi omuwedde ekitongole ky’eby’obulamu mu nsi yonna kyalangirira nga Ebola bweyabalukawo mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo 3 nebafa.