Skip to content Skip to footer

Owa Mbabazi akwatiddwa

File Photo Awagira Mbabazi nga akwatidwa
File Photo Awagira Mbabazi nga akwatidwa

Poliisi ekutte akulira abawagizi b’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi mu disitulikiti ye Soroti lwakutuuza Lukiiko lumenya mateeka

George Okoit ajjiddwa ku ka wooteeri akamanyiddwa nga Elysian Guest House abasirikale ababadde mu byambalo nga bakulembeddwamu atwala okunonyereza ku misango Charles Ndamanyire.

Okoit asangiddwa ng’akubiriza olukiiko lw’okulonda abakulembeze okuva wansi nga bano beebabadde bagenda okulemberamu okuliisa abantu ekigambo.

Bbo abawagizi abalala abasoba mu 50 babunye emiwabo ng’ono akwatibwa wakati mu kuwanyisiganya ebigambo ne poliisi.

Leave a comment

0.0/5