Skip to content Skip to footer

Owa poliisi asse bana

File Photo: Police nga ekola ogwayo
File Photo: Police nga ekola ogwayo

Omuserikale wa poliisi akubye abantu 4 amasasi mu gombolola ye Akokoro mu disitulikiti ye Apach mu kikwekweto ky’okufuuza abamenya amateeka g’ebyenvuba ku Nyanja Kyoga.
Kigambibwa nti omuserikale ono awandagazza amasasi nga agezaako okuwamba obutimba bw’abavubi abavuba obwenyanja obuto.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ya Apac John Robert Omuut, akakasizza akabenje kano n’ategeeza nga bw’atamanyi bameka abafudde.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bwa Kyoga Manshur Suwed, aganye okubaako ekyamanyi ky’ayogera wabula n’ategeeza nga omuserikale bw’akwatiddwa era akuumibwa ku poliisi ya Amolatar nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5