
Abatuuze ku kyalo Namadi mu disitulikiti ye Mayuge beerabidde katemba atali musasulire oluvanyuma lw’omusajja ow’emyaka 19 okuwakanira siringi 7000 n’ajjamu engoye zonna n’avuga pikipiki nga ali bukunya.
Kizige Isiko nga muvuzi wa bodaboda mu kitundu kino abatuuze bonna bamwegese amaaso nga teyefiirayo ayagala kuwangula ssente zino.
Ssente zino zisimbiddwawo Dan Bebere gweyabadde asabye shs lukumi wabula n’amusuubiza okumuwa 7000 singa yeyambulamu engoye y’avuga pikipiki ye.
Amangu ddala nga amaze okuvuga piki eno kilomita 2 yekulisizza n’akugula chapati 5 zonna n’azirya nga abatuuze bwebamukubira engalo.