Bya Malikh Fahad
Omusajja owemyaka 50 abatukiddwa ettaka bwabadde asima kabuyonjo.
Omugenzi ye Steven Nzemire ngabadde mutuuze ku kyalo Lyakibirizi mu gombolola ye Lwebitakuli mu district ye Sembabule.
Bino bibadde ku kyalo Nangabo mu gombolola ye Kyazanga mu district ye Lwengo.
Nananyini kabuyonjo gyabadde asima Paul Nyalugwa, agamba nti auwlidde nduulu, gyasoose oklaya era bagenze, okutuka ngono mufu.
Omuddumizi wa poliisi mu maserengeta ge gwanga Latif Zaake akakasizza enjega eno.
Omulambo oluvanyuma gujiddwayo negutwaliba mu gwanika okwonera okwkeebejjebwa.