
Akakiiko ka palamenti akalondoola ensimbi z’omuwi womuslo katabuklidde abakungu okuva mu ddwaliro lya kookolo e Mulago, nga bano babalanga kumala gakozesa nsimbi ezaali zebaweredwa.
Alipoota y’omubalirurizi webitabo bya gavumenti yalaze nga bano bwebakyusa ensimbi obukadde 327 ezaali ezokugula ebintu bye dwaliro nebazigaba mu busiimo bwabakozi, kyoka nga kino kimenya mateeka
Ababaka okubade Paul Mwiru, Tim Lwanga, ne Theodore Sekikuubo batabukdde akulira edwaliro lino Dr Jackson Oryem nga baagala atangaaze lwaki yakyusa ensimbi zino, songa muzabaweebwa kyali kiragidwa nti zabusiimo
Kale newankubade Dr Oryem,agezezaako okunyonyola, bbo ababaka bagaanye nebamukagira zona azikomyeewo.