Eyali minisita w’amakolero James Mutende ayogeddwaako ng’omusajja abadde ateese mu palamenti ne mu bukiiko
Bino byogeddwa sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga mu kuteesa ku mirimu emirungi egikoleddwa minisita ono mu bulamu bwe.
Kadaga agambye nti kyannaku nti palamenti etude mu ssabbiiti ssatu okuddamu okusiibula memba waayo omulala oluvanyuma lw’okusiibula Gen Aronda Nyakairima
Ono era asaasidde ne pulezidenti Msueveni olw’okuviibwaako ba minisita be babiri mu bbanga eritaweza na mwezi.
Bbo ababaka okuli Daudi Migereko , Alice Alaso ne Semujju Nganda batenderezza nyo emirimu gy’omugenzi.
Omugenzi Mutende wakuzikibwa ku bijja byabajajjabe mu disitulikiti ye Sironko nga era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni naye wakwetaba mu kuziika.