
Akakiiko akalondesa kalina ennaku musanvu okunyonyola lwaki kayongezaayo okusunsula abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Mu bbaluwa gy’awandikidde akakiiko kano, eyali ssabaminisita Amama Mbabazi alumirizza akakiiko akolera wabweru w’amateeka n’okuzinira ku ntoli za NRM.
Ebbaluwa eno ewandiikiddwa bannamateeka ba Mbabazi okubadde Fred Muwema, Severino Busingye ne Mary Byamugisha, era nga bagamba nti akakiiko akalondesa tekamala kasazaamu nteekateeka zonna.
Bano bagamba nti etteeka ly’okulonda likirambika bulungi nti enteekateeka zikyusibwa waliwo ensobi, obutabala bulungi, ne bigwabitalaze ng’akakiiko tekaawa nsonga lwaki kayongezaayo
Bannamateeka ba Mbabazi bagamba nti bino byonna byakolebwa kubanga NRM yali tennaba kutuuza ttabamiruka waayo kukakasa pulezidenti Museveni.
Balumiriza nti amateeka gakirambika nti omuntu yekka akkirizibwa okuwandiisibwa n’okuwaayo emikono yooyo yekka akakasiddwa ttabamiruka w’ekibiina ekitaaliwo ku Museveni.
Muwema akikkatiriza nti akakiiko ssinga tekaanukula ku nsonag zaabwe, tewali kubusabuusa , ensonga zakumalira mu kkooti.
Akakiiko akalondesa ssabbiiti ewedde kayongezaayo okukakasa abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga okuva ku nga 5 ne 6 omwezi guno okudda ku nga 3 ne 4 omwezi ogujja
Olunaku lwajjo akakiiko kano keekamu kakasizza pulezidenti Museveni ng’omu kw’abo abatutte emikono egitaliiko kabuuza