Bya Damali Mukhaye
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu ab’ekibina kya Human rights network basabye palamenti okukola okunonyereza ku bantu abagambibwa okutulugunyizibwa bukyanga eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi attibwa.
Bano okuvaayo bwebati nga abantu 13 abakwatibwa ku byekuusa ku ttemu lino balumiriza poliisi okubatulugunya nga neyakasembayo ye meeya we kamwenge Godfrey Kamukama .
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, akulira ekibiina kino Muhammad Ndifuna ateegzezza nti poliisi abavunaanwa ebakutte bubi era eddembe lyabwe lityoboddwa.
Kati Ndifuna agamba bannayuganda poliisi baagigyamu obwesige kale palamenti yesanye okunonyereza ku nsonga zino .
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye bino byonna abisambjja.
