Skip to content Skip to footer

Poliisi ekutte abakazi babiri lwakutta musajja

PADER

Bya CISSY MAKUMBI

Police mu district ye Pader eriko omukazi owemyaka 28 gwegalidde ne muganda we lwakutta bbaawe George Okeny abadde atemera mu myaka 33.

Omugenzi abadde mutuuze ku kyalo Kibogi A mu ggombolola yen Ogom mu distrct ye Pader nga abakwate kigambibwa nti bekobaanye, nebakuba omusajja ku ssekalotera nafirawo.

Bano kigabibwa nti babadde nobukubagano ngera bayawukana, ebbanga eriweze.

Omowgezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa, Jimmy Patrick Okema, akakasizza okukwatibwa kwa bakazi bano nakampaate ababiri nga bakumibwa ku CPS e Pader.

Kinajjukirwa nti mu mwezi gwomwenda, poliisi ye Pader eriko abantu babiri beyagalira ku ttemu eryakolebwa ku Moses Mambo, owemyaka 31, eyali omukozi ku mobile money wabula natemulwa mungeri eyewanisa emitima gyabatuuze.

Leave a comment

0.0/5