Nga sizoni y’enkuba erabika nga etandise, abantu bonna baweereddwa amagezi okwewala okuyita mu nguudo ezanjalamu amataba okusobola okutaasa obulamu.
Akulira poliisi enzinya mooto Joseph Mugisa y’awadde okulabula kuno oluvanyuma lw’amataba okutta abantu 2 e Namuwongo wiiki eno yennyini.
Ono era asabye abasula mu bitundu omubeera amataba nga Bwaise, Nsooba n’e walala okusala amagezi okulwanyisa amataba gano.