Bannayuganda abasoba mu 10 bakyatubidde mu ggwanga lya Kenya olw’okubulwa ensimbi z’okweyimirirwa bwebakwatibwa n’ebiwandiiko ebijingirire.
Akwanaganya ekitongole ekilwanyisa okukukua abantu wano mu ggwanga Moses Binoga agamba bannayuganda 34 Ugandans baakwatibwa mu kibuga Nairobi mu myezi 2 egiyise nga balina ebipapula ebijingirire kwebaali batambulira.
Agamba kati abasoba mu 10 bakyasibiddwa mu kkomera lye Logati e Nairobi kubanga tebalina ssente gavumenti ya Kenya zeyabasabye okubayimbula nga gavumenti yakuno nayo telina kyakubakolera.