Poliisi ezinzeeko amaka g’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ne loodi meeya erias Lukwago nebabalemesa okuva ewaka.
Besigye y’omu ku kibinja kyabanakibiina kya FDC abasuubirwa okulabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka akakola ku nsonga z’ebbago z’etteeka ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga.
Ekikwekweto kino kikulembeddwamu omu ku baduumira ebikwekweto bya poliisi e Kasangati Fred Ahimbisibwe agaanye Besigye okusegula ekigere okuva ewuwe e Kasangati
Ye Besigye ategezezza nga bweyewunyizza okulaba nga agaanibwa okuva mu maka ge.
Embeera yeemu ne mumaka ga loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago naye agaaniddwa okufuluma.