Poliisi yewozezzako ku kyokujjawo poliisi positi eteekewo obuyumba obutali bwankalakalira .
Ssabapoliisi w’eggwanga y’ategezezza nga kino bwekyetagisa kubanga abaserikale balina batono sso nga n’enguzi esusse ku bu poliisi positi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba kino wabula ssi kyakukosa poliisi positi ezazimbibwa edda wabula tebaagala kutekawo mpya.
Enanga agamba polisi positi eziriwo mu kiseera kino zakusumusibwa zifuuke bitebe bya poliisi mu bitundu gyebiri.
Ekiteeso kino wabula tekinakakasibwa kakiiko ka poliisi akakola ku by’amateeka.