Ssabapoliisi wa Yuganda Gen Kale Kaihura alagidde ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okuzimba okuzimba mangu ddala poliisi enakwatagana n’omuntu wabulijjo mukifo wenyini awattirwa eyali omumyuka wa ssabawaabi w’emisango gya gavumenti Joan Kagezi
Kaihura okwogera bino abadde akyaddeko e Najeera okumpi ne kkanisa ya St. Mbuga awattirwa omugenzi, okwogerako n’abatuuze ku nsonga z’ebyokwerinda.
Kaihura agambye nti poliisi okusobola okutuukiriza omulimo gwaayo esaana okufuna obuwagizi bw’abantu babulijjo okuviira ddala ku byalo, olwo eby’okwerinda bisobole okunyweera .