Poliisi ekakasiza nga bwekutte abayizi abasoba mu 40 okuva ku ntendekero e Makerere ababadde bekalakasa, poliisi n’okutuusa kati ekyalwanagana n’abayizi abawakanya ekya university okubakaka okusasula ebisale bya university byona mu weeki 6 ezisooka ezolusoma.
Abatwatiddwa abakulirwa ku poliisi ye Wandegeya, cps ne ku poliisi e Mulago.
Adumira poliisi ye Wandegeya jackson Muchunguzi agambye nti waliwo ekibinja kyabayizi abatwatiddwa ngabagezako okulumba eddwaliro lye Mulago okujjayo munabwe avudde ku Kabagali ya poliisi yaggwa.
Muchunguzi agambye nti poliisi ekyagenda mu maaso n’okulwanagana n’abayizi, abalumbye ebitundu omuli Wandegeya, Mulago, Kikoni ne’birala.
Wabula Muchunguzi asabazze ebyogerwa nti omuyizi avudde ku kabangali naggwa nti afiridde mu ddwaliro e Mulogo.