Skip to content Skip to footer

Pulezidenti alabuddwa ku tteeka lya siriimu

HIV victims

Bannabibiina ebirwanirira eddembe ly’abantu abawangaala ne siriimu balina essuubi nti omukulembeze w’eggwanga yandyekuba mu kifuba natateeka Mukono ku teeka lya siriimu nga terinakolebwamu nongosereza ezeetagisa.

Omukwanaganya w’ekibiina ekigatta abasajja abawangaala ne siriimu  Richard Sserukuuma agamba nti enyingo 41 mu teeka lino yebabobya emitwe nga evunaana abasiiga banaabwe siriimu mu bugenderevu.

Agamba nti akawayiro kano singa tekakyusibwamu omuwendo gwabannayuganda abagenda okwekebeza gwakukendeerera ddala.

Leave a comment

0.0/5