Bya Juliet Nalwooga
Okutandika n’olunnaku lw’enkya, nga 3 May omwaka 2021, bannaYuganda abagala okutambula emitala wa’mayanja, nga betaaga ebbaluwa ekwata ku nneyisa yaabwe eya Certificate good conduct bakujisabanga okuyita ku mutimbagano
Owogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti baazudde nga ku kitebbe kya poliisi yensi yonna e Kololo, ku Interpol waliwo ebikolwa byenguzi eyitingana.
Certificate eno ebeera eraga enneyisa yomuntu mu myezi 6 ejiyise.
Ebibalo bya poliisi biraga nti okuva mu January, ku ntandikwa yomwaka guno certificate zino emitwalo 3 mu 6,000 zezakagabibwa nga muvuddemu omusolo gwa buwumbi 3 nobukadde 900.