Skip to content Skip to footer

Sejjusa bumukeredde

Tinye

Palamenti   emaze n’egaana okwongerayo oluwumula lwa general David sejjusa nga ono amaze ebbanga ng’ali mu luwumula mu gwanga elya Bungereza.

Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga agamba nti akizudde nga Sejjusa tali ku mirimo mitongole nga bweyasaba ,kale nga amwagala mu palamenti obutasukka lunaku lwankya.

Kadaga agamba nti ssejjusa tali ku mirimo gy’amaggye nga bw’agamba, kyokka nga eno amazeeyo ebbanga lya myezi kumpi ena  miramba nga yeefude akola enyo.’

Kinajjukirwa nti gavumenti  erudde nga etegeeza nga ono bw’ajja okuvunaanibwa emisango gy’okulya mu nsi ye lukwe olw’ebigambo byazze eyogera ebitataganya ebyokwerinda.

Ye munamateeka wa Sejusa Joseph Luzige agamba  ekikolwa kya Kadaga ssi kya buntu bulamu.

 

Leave a comment

0.0/5