Eyali akulira bambega za gavumenti gen Dabid Sejusa kikakasiddwa nti ssi wakwetaba mu kalulu k’aludde ng’awenja.
Sejusa asindikiddwa ku meere e Luzira agira yebakayo okutuuka nga 23 omwezi guno.
Kiddiridde kkooti y’amaggye etuula e Makindye okusalawo nti ono akyaali munnamaggye era alina okuwozesebwa nga munnamaggye.
Abatuula ku kkooti y’amaggye omusanvu nga bakulembeddwaamu Maj Gen. Levi Karuhanga basazeewo nti Sejusa engeri gy’atalina kiwandiiko kiraga nti yava mu maggye talina gy’agegaana.
Karuhanga era agamba nti tewali kiragiro kyonna kibayimiriza kuwozesa Sejusa kale nga bakusigala nga bakikola.
Sejusa abadde era yasabye dda okweyimirirwa kubanga ku myaka 62 akuliridde ate nga mulwaddelwadde nga yetaaga kuva bweru wa kkooti ng’awoza.
Sejusa alina emisango etaano egyekuusa ku kuyisa amaaso mu bakama be n’okwetaba mu byobufuzi ebyawula mu bantu.